Emyaka giweze emyaka 31 ejijjudde, nga Nnyinimu Bbaffe Ssaabafumbo Maasomoogi Ssekkesa Sseggwanga Musota Cuucu Bbeene Ronald Muwenda Mutebi II ng’atudde ku Nnamulondo alamula Obuganda.
Ennnaku z’omwezi zaali 31 July, 1993 Omulangira Ronald Muwenda Mutebi ll, yatuuzibwa ku Namulondo ya bajjajjabe ku mukolo egwali e Naggalabi Buddo.
Amatikkira ga Ssabasajja Kabaka gwegumu ku mikolo 3 emikulu mu bwakabaka bwa Buganda, emirala kwekuggulawo Olukiiko lwa Buganda n’amazaalibwa ga Beene, era buli lwe gyituuka Obuganda bubugaana esannyu.
Mu myaka 31 Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll gyamaze ku Namulondo, alina bingi byakoze mu kuzza Buganda ku ntiko.
Bingi azze abyennyigiddemu butereevu, era ng’omulembe gwe Omutebi yagukwasa bavubuka okugutembeeta.
Omuli okuzzaawo enonno y’eika n’okubinyweza, okutumbula eby’obulamu ngayita mu kujjanjaba n’okukubiriza abantu okwetangira eddwadde nga bayita mu kwegememesa nókwekuuma naddala eya siriimu, okutumbula ebyenjigiriza ng’ayita mu Kabaka Education Fund nókutadikawo amasomero, , okutondawo emirimu naddala eri abavubuka ngayita mu kutandikawo ebitongole ebyenjawulo.
Mubirala Omutanda byakoze mulimu okutumbula eby’obulimi naddala ekirime eky’rmmwannyi, n’ensuku, okutumbula ebyemizannyo ngayita mu Masaza n’emipiira gy’ebika, okutumbula eby’enfuna bya bantube, okuteekawo obukulembeze okutuusa enteekateeka za Buganda ku bantu mu byalo ggyebabeera nebirala.
Ssabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Lukomanantawetwa azze akubiriza abantu be ku miramwa egyenjawulo.
Mu myaka 31 obumu bweyongedde mu bantu ba Beene, nga n’omwaka guno 2024, emikolo gitambulidde ku mulamwa ogumba nti “Obumu bwaffe gemaanyi ga Namulondo”.
Abantu ba Beene bongedde okukola ennyo, n’okwettanira ebibiina by’obwegassi okwekulakulanya nga bayita mu bibiina nga CBS PEWOSA nebirala.
Ssabasajja Kabaka Ekiryosserulanda ekimaamiidde Obuganda, yasiima Emikolo emikulu egy’amatikkira egy’omulundi ogwa 31 gibeere mu Lutikko e Namirembe.
Lemeera Lemeera Ayi Nnyinimu!