Abakulu ku Kkanisa lutikko Ey’Omutukuvu Paul e Namirembe mu butongole bafulumizza enteeteeka eyenkomeredde enaagobererwa mu Kusabira Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, n’okuzjaguza emyaka 31 ng’atudde ku Nnamulondo alamula Obuganda.
Ku lw’Omulabirizi w’e Namirembe Rt. Rev. Moses Bbanja, Dean wa Lutikko The Very Rev. Jonathan Kisawuzi Ssaalongo, yeeyanzizza nnyo Empologoma olw’okusiima Okusaba n’okujaguza okw’omulundi guno kukwatirwe ku lutikko e Namirembe.
Agambye nti omukolo guno gusuubirwako abantu ba Kabaka abakunuukiriza mu 5000, wabula nti bonna babateekedde teekedde bulungi okwetaba obulungi mu kusaba mu nda mu lutikko ne mu weema ebweru omuteereddwa entimbe, okubaweereza ebifaananyi n’amaloboozi amalungi.
The Very Rev Jonathan Kisawuzi Ssaalongo era akinogaanyizza nti emikolo gyakutandika ku ssaawa bbiri zennyini ez’okumakya n’abantu ba Kabaka nga batandika okutuuka ku lutikko, era bano abakubirizza obutajja na ntwala kibayambe okwanguyizibwako okuyita mu mitendera gyabebyokwerinda.
Ku ssaawa ttaano zennyizi ez’okumakya, Omugenyi omukulu anaaba atuuka, olwo okusinza kutandike n’ennyiriri, ng’okusaba kwonna kusuubira okumala essaawa bbiri zokka.
Agambye nti okusaba nga kuwedde, Beene ajja kusiima agabule abantube ekijjulo kya kkeeke n’emmere.
Afande Nicholas Kamusiime akiikiridde DPC wa Old Kampala, agambye nti ng’abebyokwerinda beetegese bulungi okuwa abantu ba Kabaka obukuumi.
Ssabasajja Kabaka yasiima amatikkirage ag’omulundi ogwa 31, okugakuliza mu kusaba okwenjawulo, era Lutikko ya St Paul e Namirembe yeyalondebwa okuteekateeka.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K