Ekikangabwa kigudde ku kyalo Bugaaju mu muluka gwe Kizibira mu gombolola ye Kirumba mu district ye Kyotera, akulira eby'okwerinda ku kyalo ekyo asangiddwa atiddwa. Attiddwa ye Edward Ssekabira Kanyeenya myaka...
Omulabirizi we Namirembe Moses Banja agguddewo ekkanisa ya St John's church of Uganda Kiwaatule. Obusumba bwe Kiwatule mu busaabadinkoni bwe Namugongo bukutuddwa okuva ku busaabadikoni bwe Gayaza, era ng'omusumba...
Abakulisitaayo mu kkanisa ya Zzinga Church of Uganda mu ggobolola ye Bussi mu district ye Wakiso batandiise kaweefube ow'okuzimba ekkanisa, oluvannyuma lw'emyaka 40 nga basabira mu bibiina by'essomero . Bwabadde...
Omulamuzi wa kkooti enkulu Dr. Daglas Singiza awadde ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw'ensi ki National Environment Management Authority (NEMA) wiiki bbiri zokka okwewozako ku musango ogwawaabwa abatuuze b’e Kibiri A...
Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo ekya Uganda National Examinations Board, (UNEB), kikutte abasajja 2 nebasimbibwa mu mbuga z'amateeka, ku bigambibwa nti babadde beyita abakungu bakyo era nti babadde balina empapula z'ebibuuzo...
Nnabbambula w’omuliro atanategerekeka kwavudde akutte ekisulo ky'abayizi abawala ku ssomero lya Bilal Islamic Institute e Kakiri mu district ye Wakiso, ebintu bingi nebifuuka muyonga. Omuliro guno kigambibwa nti gwatandiise ku...
Omutawaana gugudde ku kizinga Mabo ekisangibwa ku nnyanja Wamala mu gombolola ye maanyi mu district ye Mityana, omusajja atemyetemye mukyalawe n'omuzzukulu ow'emyaka 3. Omusajja kalibutemu ategerekese nga ye Matia Ssessanga...
Nga 10 October buli mwaka, ensi yonna yeefumiitiriza ku kibonerezo ky’okuwanika abasingisiddwa emisango ku kalabba, wabula amawanga mangi teganakiggyawo, nga ne Uganda mwojitwalidde. Ekibiina ky’amawanga amagatte kizze kivumirira enkola eno,...
President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni agamba nti abantu ssekinnoomu bebalemereddwa okwegobako obwavu, nti kubanga government etaddewo enkulaakulana yonna eyeetagisa esobozesa bannauganda okwerwanako bave mu bwavu. President Museveni...