Abali abakungu b’ekitongole ekiddukanya ekibuga ekikulu Kampala KCCA batuusiddwa ku kkooti ento e Kasaangati okusomerwa emisango egyekuusa kubulagajjavu, obwaviirako abantu abasoba mu 30 okufa mu njega y’okubumbulukuka kwa kasasiro mu bitundu by’e Kiteezi mu district ye Wakiso

Eyali exective director Dorothy Kisaka ne banne okuli omumyuka we Eng David Luyimbaazi wamu ne Dr Daniel Okello eyali avunanyizibwa ku byobulamu mu KCCA batuusiddwa ku Saawa taano n’edakiika 36 wakati mu by’okwerinda ebyamaanyi.
Bannamateeka babwe wamu nabenganda batuula buffofofo okulaba ng’abantu babwe bateebwa ku kakalu ka kkooti.

Mu bamu kubatuuse ku kooti, kuliko akulira ekitongole kya National planning Athority era nga ye Katuukiro wa Busoga Dr.Joseph Muvawala Nsekere .
Bisakiddwa: Tonny Ngabo









