Police mu district ye Arua ekutte omuwala wa myaka 22 egy'obukulu, ku bigambibwa nti akutte omwana we n'amusuula mu kabuyonjo, olw'omusajja gw'abadde ayita kitaawe w'omwana okumwegaana. Akwatiddwa ye Drateru...
Embeera ezze mu nteeko oluvannyuma lw'essaawa eziwezeeko ng'entambula esannyaladde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja, wakati wa Banda ne Kyambogo. Amataba agavudde ku nkuba ekedde okufudemba gasazeeko ekitundu...
Abasajja babiri nga bannaUganda basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Mpigi, ku bigambibwa nti baakukusa abantu okuva mu Burundi nebabayingiza Uganda Ssali Haruna ne Katamba Yasin bebasimbiddwa mu maaso gomulamuzi...
Okuva Enjega lweyagwa ku Freedom City e Namasuba mu Kampala nga 31 December,2022 n'okuyingira omwaka 2023 wabadde wakyaliwo ebibuuzo bingi ku kituufu ekyaviirako abantu okwesindika okutuuka okufa, ekiwalirizza police okusaba...
Government erambise enteekateeka 4 zegenda okusaako essira mu mbalirira y'omwaka gw'ebyensimbi oguggya 2023/2023. Mulimu okutandika okuzimba oluguudo lwéggaali y'omukka olw'omulembe olumanyiddwa nga standard Gauge Railway oluva e Malaba ku nsalo...
Minister w’amawulire n’okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi yaddusiddwa kipayoppayo mu ddwaliro ekkulu e Mulago okuva mu district ye Kanungu. Minister azirikidde ku mukolo gw'okusonda ensimbi ez'okuzimba ekkanisa. Akawungeezi k’eggulo minister...
Aba Nusery basabye emisaala. Abasomesa ba nursery e Namayingo abatandise okutendekebwa bafune degree, bawanjagidde government ebateeke ku nkalala nabo ebawe emisaala egyegasa. Abasomesa abogeddeko n'omusasi waffe e Busoga Kirabira Fred,...