Government erambise enteekateeka 4 zegenda okusaako essira mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi oguggya 2023/2023.
Mulimu okutandika okuzimba oluguudo lwéggaali y’omukka olw’omulembe olumanyiddwa nga standard Gauge Railway oluva e Malaba ku nsalo ya Uganda,n’okuddabiriza oluguudo lwéggaali y’omukago olukadde oluliwo.
Okwongera okuteeka ensimbi mu kulima okw’okufukirira ebirime, omuli okuzimba ddaamu zámazzi agafukirira ezikolera ku masanyalaze gámaanyi génjuba, kiyambeko okwongera ku bungi bw’emmere erimibwa mu ggwanga.
Government era eyagala kwongera ku kuzimba amabibiro g’amasanyalaze n’okuzimba liyini z’amasanyalaze okugatuusa eri abageetaaga
Enteekateeka endala kuliko okwongera okusiga ensimbi mu bank yabannansi eya Uganda development bank, n’ekitongole ky’eggwanga ekivunanyizibwa ku makolero ki Uganda development corporation biyambeko okubbulula ebyenfuna by’egggwanga.
Minister omubeezi ow’ebyensimbi Henry Musaasizi bw’abadde ayanjula embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2023/24 ekyali mu bubage, agambye nti enteekateeka zino zaalungamizibwa mukulembeze w’eggwanga.
Minister Musaasizi agambye nti enteekateeka ezo zezigenda okussibwakoa ssira, olwo endala zigoberere okuli enteekateeka endala omuli okunyweza ebyokwerinda by’eggwnga n’obutebenkevu, okuzimba enguudo n’okuddaabiriza ezonoonese, ebyobulamu, ebyenjigiriza okusiga ensimbi mu mirimu zokusima amafuta n’ebirala.
Embalirira y’omwaka oguggya 2023/2024 ekyali mu bubage ya trillion 49 nobuwumbi 988, nga yalinnye okuva ku trillion 48 n’obuwumbi 131 eyomwaka gwebyensimbi guno ogugenda mu maaso 2022/2023.
Wabula government eraalise nti ensimbi zeerina ezigenda okusaasaanyizibwa zakendeddeko ne trillion 2 nobuwumbi 540, okuva ku trillion 25 nobuwumbi 402 okudda ku trillion 22 nobuwumbi 860.
Government ebuulidde ababaka nti essira omwaka guno egenda kulissa kukukendeeza ebbanja lyeze yewola , nga June w’omwaka 2022 weyagwerako, Uganda yali ebanjibwa trillion 78.
Wabula ababaka ba parliament ku kakiiko kano tebamatidde n’enteekateeka government zeyanjudde nti zegenda okusaako essira mu mbalirira y’omwaka oguggya, bagamba nti tebabirinaamu ssuubi kubbulula byanfuna bya ggwanga.
Mohammed Muwanga Kivumbi minister w’ebyensimbi ku ludda oluvuganya government agambye nti byonna ebirambikiddwa tebizza magoba eri eggwanga okugeza ebyokwerinda, ebyobukulembeze n’ebirala, songa ebizza amagoba eri eggwanga biweereddwa obusente butono.