Aba Nusery basabye emisaala.
Abasomesa ba nursery e Namayingo abatandise okutendekebwa bafune degree, bawanjagidde government ebateeke ku nkalala nabo ebawe emisaala egyegasa.
Abasomesa abogeddeko n’omusasi waffe e Busoga Kirabira Fred, bagambye nti government yabassaako akazito baddeyo basome bafune degree, nti naye tebalaba nteekateeka gyekoze kubasasula misaala.
Bagamba nti bataddewo sente zabwe nnyingi bongere okutendekebwa, era basuubira nti government siyakubalekerera.
Bannyonyodde nti era bawaayo obudde bungi okuteekateeka abaana abato mu by’enjigiriza nga n’olwekyo tesaanye kubasuulirira.
Bano era bagala government ekkirize mu butongole nursery ziteekebwe ku massomero gaayo gevunaanyizibwako eziddukanye.
Bisakiddwa: Kirabira Fred