Omwana ow'emyaka 7 afiiriddewo ate abalala 2 bakoseddwa byansusso. Laddu eno egudde obukuba butonnyerera ku kyalo Kabigi mu town council ye Butenga mu district ye Bukomansimbi. Laddu ebasanze mu kiyungu...
Police e Katwe mu Kampala eggalidde abasajja babiri nga ebalanga kusangibwa n'emmundu mu bumenyi bw'amateeka. Abakwate kuliko Ochan Denis Joseph owemyaaka 42 nga ava mu district ye Agago ne Akena...
Abalunzi mu ggombolola ye Ngogwe ne Ssi Bukunja mu district ye Buikwe beraliikirivu,olw 'ekirwadde ekirumbye amagana gabwe ekiyitibwa Ekifuluuto (Lampy skin). Ente 82 zezaakazuulibwa n'ekirwadde nga n'ezimu zitandise okufa. Okusinzira...
Government esazeewo okuyungula amagye gegaba gakuuma ebikondo ne waya ezitambuza amasannyalaze esisusse okubbibwa amanyazi. Minister webyokwerinda Vincent Bamulangaki Ssempijja asinzidde mu kakiiko ka parliament akalondoola ebyokwerinda, naagamba nti okusala...
Police etandise ekikwekweto ku bagoba mmotoka abavuga nga bwebaseereza n'okwogerera ku ssimu. Mu kikwekweto kino waliwo abagoba ba bus abakwatiddwa, okuli eya kampunibya Global ne YY. Abakwatiddwa kuliko Tenywa Phillip...
Ab'obuyinza mu district ye Pakwach batandise omuyiggo gw'abasibe 4, balabirizza abakuumi okuva ku kooti nebateekako kakokola tondeka nnyuma. Abasibe okuli David Otoywoth avunaanibwa gwa bubbi, Simon peter Atipo gwa kukabassanya...
Police mu Kampala n'emiriraano etandise okunoonyereza ku musajja gwekubye amasasi naafa nga addusibwa mu ddwaaliro, oluvannyuma lw'okulumba police ye Masanafu mu kiro ekikeesezza leero. Police egamba nti omusajja ono yalumbye...
Akakiiko ke ddembe lyóbuntu aka Uganda Human Rights Commission kagala ssabawolereza wa government addukire mu kooti ensukkulumu, ajulire ku nsala ya kooti etaputa ssemateeka olwókusazaamu ennyingo eya 25 ey'etteeka erikwata...