Okuva Enjega lweyagwa ku Freedom City e Namasuba mu Kampala nga 31 December,2022 n’okuyingira omwaka 2023 wabadde wakyaliwo ebibuuzo bingi ku kituufu ekyaviirako abantu okwesindika okutuuka okufa, ekiwalirizza police okusaba obutambi obulaga ebyaliwo.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga agambye nti ebyakolebwa mu ndagaano wakati wa John Ssebalamu agambibwa nti ye nnyini Freedom City ne Abbey Musinguzi ayitibwa Abitex eyategeka ekivvulu nti bingi tebyagobererwa ekyavaako abantu okwesindika.
Fred Enanga agambye nti Abbey Musinguzi wakuvunaanibwa emisango18 omuli obulagajjavu n’emirala mingi.
Mu kiseera kino eyali kalabaalaba w’omukolo Francis Elvis Jjuuko naye yakwatiddwa, nga kigambibwa nti yeyalagira abantu okufuluma bagende ebweru berolere ku biroliro ebimalako omwaka n’okuyingira omujja.
Jjuuko aguddwako emisango 13 egyekuusa ku bulagajjavu era asindikiddwa ku alimanda, ng’okunoonyereza bwekweyongera mu maaso.
Webutuukidde kati ng’abantu 11 bebaakafa olw’akanyigo akaaliwo, n’abalala 18 bakyali mu malwaliro.
Abaafa kuliko Kubuuka Daniel, Kubuuka Daniella, Kizito Ibrahim, Hakimati Nazima, Nakanwagi Viola, Namyalo Mary, Nakakande Hadija, Mwane Shafik, Nakatumba Margret,Brian Musenero, Kauthra Najura n’omwana omuto ow’emyaka 3 atanategerekeka mannya.
Bisakiddwa: Kato Denis