Police mu district ye Arua ekutte omuwala wa myaka 22 egy’obukulu, ku bigambibwa nti akutte omwana we n’amusuula mu kabuyonjo, olw’omusajja gw’abadde ayita kitaawe w’omwana okumwegaana.
Akwatiddwa ye Drateru Janet mutuuze ku kyalo Tilevu mu gombolola ye Vurra mu district ya Arua.
Kigambibwa nti omwana abadde wa lunaku lumu lwokka, era omu kubalirwana yeyamulabye ng’amusuula mu kabuyonyo kwekubagulizaako police eyasitukiddemu.
Omwana annyuluddwayo ng’akyali mulamu.
Kigambibwa nti Drateru, abadde omwana yamuzaala mu musajja mulala atali bba gw’abeera naye, era olwazadde kwekusalawo amuwe kitaawe omutuufu wabula n’amwegaana.
Omwogezi wa police mu bitundu ebyo SP Angucia Josephine agambye nti Drateru agenda kuggulibwako emisango gy’okulinnyirira eddembe ly’omwana n’okugezaako okutta omuntu.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru