Police ye Mayuge eri kumuyiggo gw'omusomesa Basalaine Ronald agambibwa okusobya ku muyizi ow'ekibiina ekyomusanvu n'amufunyisa n'olubuto. Omuduumizi wa police mu district ye Mayuge Asp Bashil Shiliba agambye nti omuze gw'okujjula...
Ssaabawaabi wa government aggye enta mu misango gyonna egyaggulwa ku Omusinga w'e Rwenzururu Charles Wesley Mumbere ne basajja be 217. Omusinga ne basajja be baaggulwako emisango gy’obutemu, okulya mu nsi...
Abatuuze ku kyalo Ssayi mu Gombe division Nansana municipality mu Wakiso district bavudde mu mbeera nebatta abavubuka 2 bebagwikirizza nga kigambibwa nti babadde baliko embuzi 2 zebabadde babbye. Bino bibaddewo...
Ab’eby’okwerinda mu district ye Kaseese balagidde abakulembeze b’ebyalo byonna ebiriraanye ensalo ezawula Uganda n’obuvanjuba bwa DR Congo, okuwandiika abantu bonna abapya abayingira mu bitundu byabwe, okuziyiza abayeekera ba ADF okubyekukumamu....
Abakungu ba government ,bannakatemba abayimbi, n'abantu abalala bakungubagidde Paul Kato Lubwama, gwebatenderezza nga bw'abadde omusajja omwesimbu mu buweereza bwe, era ng'akoze kinene okusitula ekisaawe kya katemba mu ggwanga lino. Bino...
Abantu abalala basatu bakwatiddwa okuyambako police mu kunoonyereza kweriko, okw'okuzuula abantu abenyigira mu lukwe lw'okutemula munnamateeka Ronnie Mukisa , eyakubwa amasasi bweyali ayingira mu makaage e Makindye Ssabagabao. Ronnie Mukisa...
Abasirikale ba police 13 kw’abo abaali mu kabinja k’abasirikale okuva mu bitongole ebikuuma ddembe ebyenjawulo ebyazingako amaka ga Sheik Yunus Kamoga agasangibwa e Kawempe Ttula mu ggombolole ye Kawempe bayimiriziddwa...
Kkooti ento e Kajjansi eyimbudde eyali omubaka wa Kawempe South mu parliament Mubarack Munyagwa ku kakalu ka kooti ka shs akakadde kamu ez'obuliwo. Omulamuzi Doreen Karungi ayimbudde Munyagwa ne banne...