Ab’eby’okwerinda mu district ye Kaseese balagidde abakulembeze b’ebyalo byonna ebiriraanye ensalo ezawula Uganda n’obuvanjuba bwa DR Congo, okuwandiika abantu bonna abapya abayingira mu bitundu byabwe, okuziyiza abayeekera ba ADF okubyekukumamu.
Kino wekigidde nga waliwo bannansi Democratic Republic of Congo abaabadde basoba mu 100 abaddukidde e Uganda, oluvanyuma lw’abatujju ba ADF ne M23 okukola obulumbaganyi ku katawuni ka Kasindi akali kilometers 4 okuva ku nsalo ya Uganda eye Mpondwe era abantu 46 bebaafiiridde mu bulumbaganyi buno.
Lt Joe Walusimbi omubaka wa President e Kaseese ategezeza nti embeera egenda edda mu nteeko oluvannyuma lwa bannansi ba DR Congo ababadde baddukidde kuno okuddayo ewabwe, naye wakyaliwo okutya ku bantu abamu olw’obulambaganyi obwabaddewo.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico