Omuliro gukutte negusanyaawo ekisulo ky’abayizi ekya Bright future primary school e Butagaya mu Jinja City.
Ebibadde mu kisulo byonna bifuuse muyonga,wabula tewali muyizi yenna atuusiddwako bisago.
Abatuuze abogeddeko ne banamawulire nga bakulembeddwamu Waiswa Tanansi bagamba nti bafubye okuguzikiza negubasinza amaanyi, era police wetuukidde ng’ebintu by’abayizi byonna bisanyeewo.
Omukulu we ssomero lino Ddiba Mugabi asiimye abazadde abakoze ekisoboka okutaasa abayizi n’ebisulo ebirala obutayokebwa muliro.
Bisakiddwa: Kirabira Fred