Abantu abalala basatu bakwatiddwa okuyambako police mu kunoonyereza kweriko, okw’okuzuula abantu abenyigira mu lukwe lw’okutemula munnamateeka Ronnie Mukisa , eyakubwa amasasi bweyali ayingira mu makaage e Makindye Ssabagabao.
Ronnie Mukisa yali akolera mu kampuni ya IBC advocates mu Kampala.
Abakwate kuliko Karedou Robert Irama ne mukyalawe Nalwoga Brenda Cathy ne Cop Anyuse Max Geofrey abadde omukuumi wa Karedou ng’ono yadduka mu magye agaali gakola ebikwekweto mu Congo, nga bano beegasse ku abadde omuduumizi wa police eya Kawempe South Vincent Irama.
Kigambibwa nti Karedou ne mukyala we baafuna obutakkaanya ne munnamateeka Mukisa ku bikwata ku bya business nga kigambibwa nti wano wewaava emberebezi.
Okunoonyereza okwakoleddwa mu nnaku 11 kulaze nti police mu kwaza amaka ga Karedou yasanzeemu magazine z’emmundu 2 n’amasasi 52 wamu n’ebyambalo by’amagye.
Cop Anyuse ategeezezza ab’ebyokwerinda nti yaweebwa omulimu ogw’okutta munnamateeka Ronnie Mukisa, nga yapangisibwa Robert Irama ne Nalwoga Brenda.
Anyuse ategeezezza ab’ebyokwerinda nti emmundu eyatta munnamateeka yagifuna okuva eri omuduumizi wa poliisi ya Kawembe South Irama Vincent.
Ayogerera police mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza bannamawulire abakwate bakuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka emisango gy’Obutemu.
Abantu abalala 102 bakwaatiddwa mu bikwekweeto ebikoleddwa poliisi ku luguudo lwa Northern Bypass mu Kampala, nga bano kigambibwa bebabadde batuusa obulabe kubatambuze omuli ab’Emmotoka, pikipiki, Obugaali wamu n’abatambuza ebigere ku luguudo luno.
Abakwate nga basangiddwa n’enjaga mu mataawo okuli erye Kyebando, erye Naalya, Kawaala, Bwaise, Namungoona ne Masanafu, era kizuuse nti abakyaamu bano n’Obudde bw’emisana babadde babba.
Bisakiddwa: Kato Denis