Ssaabawaabi wa government aggye enta mu misango gyonna egyaggulwa ku Omusinga w’e Rwenzururu Charles Wesley Mumbere ne basajja be 217.
Omusinga ne basajja be baaggulwako emisango gy’obutemu, okulya mu nsi yabwe olukwe, n’obwakkondo mu 2016.
Abawaabi ba government okuli Lillian Omara Jackline Okwi ne Marion Bembera bategeezezza omulamuzi nti Mumbere ne basajja be baakkiriza emisango era nebasaba ekisonyiwo, bwatyo Ssaabawaabi wa government n’aguggyamu enta.
Abantu abasoba mu 100 bebagambibwa okuba nti baalugulamu obulamu, abasirikale okuva mu bitongole by’okwerinda bwebaalumba olubiri lw’omusinga mu November wa 2016, nga birumiriza Omusinga ne basajja be okwenyigira mu bikolwa ebisekeeterera government.
Omusinga okuva olwo abadde awerennemba n’emisango, era nga wadde kooti ebadde yamukkiriza okuwoza ng’ava waka, naye abadde takkirizibwa kwetaaya, nga talina kusukka district ye Kampala ne Wakiso.
Abamu ku bakuumi be baafiira mu kkomera.
Katikkiro w’omusinga Tembo Kasubire ne Kamada Maseruka bebasigadde bakyawerennemba n’emisango, nti kubanga bbo begaana emisango era tebaasaba kisonyiwo.
Omulamuzi Komuhangi Kawuka owa international crimes division owa kooti enkulu alagidde ababiri bano baleetebwe mu kooti nga 11 July,2023 bewozeeko.#