Abasajja abagala okukebera abaana babwe endaga butonde beyongedde, era ng’abasinga bakikola bakyala babwe tebamanyi.
Abasajja abasinga bakozesa nviiri zebasala ku baana babwe nga bebase, olwo nebazitereka mu bubaasa bwebatwala mu makeberezo g’endagabutonde.
Abalala batwalayo baana bennyini nebabagyako omusaayi.
Okusinziira ku ayogerera ministry y’ensonga zomunda mu ggwanga Simon Peter Mundeyi, buli lunaku ekkeberezo lya government erye Wandegeya lifuna abasajja abasoba mu 50, abatwalayo ebintu byebabeera baggye ku baana babwe, nga bagala okubakebera endaga butonde okukakasa oba nga ddala bebabazaala.
“abasajja bano kuliko abavubuka n’abakaddiye, ng’abasinga ensonga gyebawa yeyokumanya oba nga bebazaalira ddala abaana abo, kibataase okulabirira abaana ba basajja abalala”
Awadde eky’okulabirako eky’omusajja akunukkiriza emyaka 80 , eyamutegeezezza nti yabadde ayagala ayambibwe okukebera abaana be 12, omuli abasajja n’abakazi abakulu akakase oba nga ddala y’abazaala.
Mudenyi alabudde abazadde okukwata ensonga zino n’obwegendereza, nti eyinza okuviirako obutabanguko mu maka okweyongera mu ggwanga.
Bisakiddwa: Kato Denis