Ekitongole ekivunanyizibwa ku kulwanyisa ssente ezikukusibwa okuyingizibwa mu Uganda ekya Financial Intelligence Authority, kyanjudde report y`omwaka 2021-2022, eraze nti ssente ezikukusibwa okuyingizibwa mu ggwanga zeyongedde okukendeera.
Mu mwaka gwa 2020-2021, amakubo 23,864 gegaazuulibwa okuba nti gali yatiramu ssente enkukuse okuyingira mu Uganda, wabula mu report y`omwaka 2021-2022 geyongedde okukendeera okutuuka ku makubo 4,131.
James Saka Omukwanaganya w’emirimu mu kitongole kya Financial Intelligence Authority, yayanjulidde bannamawulire alipoota eno ku Serena Hotel mu Kampala.
Agambye nti ssente ezisinga obungi kwezo ezikukusibwa neziyingizibwa mu Uganda ziteekebwa mu bikolwa bya butujju.
James Saka annyonyodde nti némisango egyekuusa ku kikukusa ssente nagyo gyeyongedde okukendera mu court za Uganda.
Bisakiddwa: Musisi John