Police ekutte abafumbo okuli Fred Mpindi 49 ne mukyala we Harriet Nakiwu 47, abagambibwa okuba nti babadde n’akawanga komuntu mu maka gaabwe, nga bakafugise okumpi n’effumbiro .
Abakwatiddwa batuuze ku kyalo Kijabijo C mu muluka gw’e Kimwannyi, Kira municipality Wakiso district.
![](https://cbsfm.ug/wp-content/uploads/2023/08/IMG-20230809-WA0055-300x225.jpg)
Omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti police yabakanye dda n’eddimu ly’okunoonyereza ku bafumbo bani, era nasaba abatuuze okubawa ammawulire agakwata kunsonga eno.
Bassentebe bokubyalo Kijabijo C ne B okuli Muhammed Muyimbwa ne Hannington Mande Sseruwu bagamba nti embeera eno yonna evudde ku bantu abayitirizza okwagala okweraguzza
Bisakiddwa: Tonny Ngabo