Omuserikale wa police Gilbert Arinaitwe Bwana asindikiddwa mu kkomera e Luzira, avunaanibwa emisango omuli okukabassanya omukoziwe n’okukukusa abantu nga bino bibaddewo mu mwaka guno 2023.
Omulamuzi omukulu owa kooti ya Buganda road Ronald Kayizzi yasindiseArinaitwe mu kkomera, ku bigambibwa nti yakakkana ku muwala owemyaka 23 n’amukaka omukwano.
Omuwala ono yamuggya mu district ye Ntungamo namutwala okukola mu makaage agasangibwa e Nalumunye Bandwe mu Town Council ye Kyengera.
Kigambibwa nti Arinaitwe yakaka omukyala ono omukwano emirundi egiwera 7, ekyamuwaliriza okuddukira mu balwanirizi b’eddembe ly’obuntu bamutaase.
Egimu ku misango egy’Okukabassanya omukyala n’Okukukusa abantu Gilbert Arinaitwe Bwana yagizza nga 23.6.2023.
Arinaitwe Bwana yayitimuka nnyo mu mwaka gwa 2011, bweyakulemberamu okulwanyisa munnamagye Rt Col Dr Kiiza Besigye, bweyayasaayasa endabirwaamu za mmotokaye ye e Wandegeya nga akozesa emmundu kika kya Pistol.#