President Yoweri Museveni akyusizza mu kiragiro kye ekyali kigaana ebitongole bya government okulangira ku mikutu gya mawulire egyo bwannanyini, ng’ayagala ebirango byonna bitekebwe ku mikutu gya government gyokka.
Omuteesiteesi wa ministry ye by’ensimbi, Ramthan Ggoobi gyebuvuddeko yali ayimiriza ebitongole bya government byonna obutaddamu kulanga ne mikutu gya mawulire egyo bwananyini nga ayagala bikozese UBC ne New Vision byokka, ng’assa mu nkola ekiragiro kya president.
Ekiragiro kino kyawakanyizibwa ebibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu n’ebibiina by’emikutu gy’amawulire.
President Museveni abadde assisinkanye abakulira ekibiina kya baddukanya wamu nebananyini mikutu gya mawulire egyo bwanannyini ekya National Association of Broadcasters, omukolo gubadde mu maka go bwa President e Ntebbe.
Alagidde minister we byamawulire n’okulungamya e ggwanga Dr Chris Baryomusi okutuula mu bwangu ne banyini mikuttu gyobwananyini okulaba engeri emikuttu egyo bwegiddamu okuwebwa ebirango bya Government.
President Museveni era asabye emikutu gy’obwananyini nti mu mpeereza yagyo okwewala ebyobufuzi ebyawulayawula mu bantu, wabula bakulembeze enjiri y’omwoyo gweggwanga ne program ezikulakulanya abantu.

Ssenkulu wa radio y’obujjajja omukungu Micheal Kawooya Mwebe nga naye yomu ku betabye mu nsisinkano eno, agambye nti basanyufu oluvanyuma lwa President okukkiriza okuddiriza ku kiragiro kyeyasooka okufulumya, ku birango ebiva mu bitongole bya government.
Omukungu Kawooya Mwebe agambye nti mu nsisinkano eno, banyonyodde President Museveni emigaso gye mikutu gya mawulire egyo bwananyini eri enkulakulana ye ggwanga.
Ensisinkano eno, yetabiddwako sabaminister wa Uganda Robina Nabanja, omutesiteesi omukulu mu ministry ye byensiimbi Ramathan Ngoobi, minister we byamawulire Dr Chris Baryomosi, Ssentebe we kibina kya NAB, Kin Kalisa,n’ abakulira emikutu gy’amawulire emirala.#