Abalamuzi ba kooti 13 bawummudde emirimu gy’obulamuzi, oluvanyuma lw’okuweza emyaka 65 ne 70 egy’obukulu.
Abalamuzi ba kooti enkulu bawummulira ku myaka 65 egy’obukulu, ate aba kooti ensukkulumu bawummulira ku 70.
Abawummudde kuliko owa kooti ensukkulumu, justice Ezekiel Muhanguzi.
Aba kooti enkulu ye Justice Jane Kiggundu, Asaph Ruhindi, Justice Joseph Murangira ne Tonny Vincent Okwanga.
Abalala kuliko 2 babadde bamyuka babawandiisi ba kooti, ate 6 babadde balamuzi mu kooti ento.
Waliwo n’abakozi abalala 36 abawummudde ababadde baweereza mu ssiga eddamuzi.
Omukolo ogubasiibula gubadde ku kitebe ky’essiga eddamuzi mu Kampala.
Omumyuka wa Ssaabalamuzi Richard Buteera abeebazizza olw’obuweereza bwabwe obusukkukumu, nebatuuka mu myaka egiwummula nga tebaswazizza ssiga ddamuzi.
Omu ku bakozi abawummudde nga ye Lawrence Opolot Okim abadde ddereeva, asabye abakulu babalowoozeeko ku ky’okusigala nga babasasulira insurance y’ebyobujanjabi.
Bisakiddwa: Betty Zziwa