Police e Ntinda eri ku Muyiggo gw'abazigu abalumbye DIPO ya Riham esangibwa e Ntinda mu Kampala balese balumizza abantu babiri. Luke Oweyisigire amyuka omwogezi wa Police mu Kampala n'emiriraano ategezeza...
Omujaasi wa UPDF Peter Lokidi akolera mu kibinja ekyokusatu yesuddemu akambaayaaya asse mukyala we n'abantu abalala 3. Ettemu lino libadde ku kyalo Nakapelimoru mu district ye Kotido, nga kigambibwa nti...
Abatuuze ku Kyalo Kisimbannyiriri mu muluka gw'e Lusango e Bukulula mu district y'eKalungu bagudde ku mulambo gwa munnabwe nga guli mu musiri gwe ogw'ennyaanya ezaabadde zi mufuddeko. Omugenzi ye Nkalubo...
Government etandise okusasula abantu abagenda okusengulwa ku ttaka eririraanye olusozi Masaaba mu District ye Buduuda, okwerinda okubumbulukuka kw'ettaka okuva ku nkuba ey'amaanyi esuubirwa okutonnya okumala emyezi 3. Buli maka gaweebwa...
Akeetalo keyongedde mu Businga bwa Rwenzuururu nga balindirira Omusinga Charles Wesley Mumbere okudda mu Bukama bwe oluvannyuma lw'emyaka 7. Omusinga asuubirwa okudda ku butaka nga 04 October,2023. Nga 19 October...
Alipoota ya Kaliisoliiso wa government eya January okutuuka mu June w’omwaka guno 2023, ekwata ku bulyi bw'enguzi, eraze nti IGG yafuna emisango 3,504 nga mujjo ensimbi obuwumbi 38 n’obukadde 7 zezalina...
Okuwulira okusaba kw'okweyimirirwa okwa amyuka mayor wa Kampala Central Hannifer Mpungu okuyimbulwa ku kakalu awoze emisango gy'obufere ng'ava waka tekusobose, fayiro y'omusango gwe yatwaliddwa Police okuddamu okugyekkeneenya. Omuwaabi wa government...