Omujaasi wa UPDF Peter Lokidi akolera mu kibinja ekyokusatu yesuddemu akambaayaaya asse mukyala we n’abantu abalala 3.
Ettemu lino libadde ku kyalo Nakapelimoru mu district ye Kotido, nga kigambibwa nti Lokidi abadde yakakomawo ku mulimu okuva mu luwummula, n’afuna obutakaanya ne mukyala we n’amutta.
Police yayitiddwa era n’emukwata.
Wabula omujaasi ono yesimattudde ku police n’abaka emmundu n’agenda ng’asasira amasasi mu bantu beyasanze mu kkubo, 3 n’abattirawo abalala 6 bapooca na bisago.
Omwogezi wa UPDF ow’ekibinja ekyokusatu Maj. Moses Amuya agambye nti bali ku muyiggo gw’omujaasi akwatibwe awerennembe n’emisango gy’okutta abantu mu bugenderevu.
Emirambo gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro lye Kotido, ate abakoseddwa baddusiddwa mu Matany Hospital okufuna obujanjabi.
Bisakiddwa: Ssebuliba William