Government etandise okusasula abantu abagenda okusengulwa ku ttaka eririraanye olusozi Masaaba mu District ye Buduuda, okwerinda okubumbulukuka kw’ettaka okuva ku nkuba ey’amaanyi esuubirwa okutonnya okumala emyezi 3.
Buli maka gaweebwa ensimbi obukadde bwa shs 7 zibayambeko okusengukira mu district ye Bulambuli.
Abantu abasoba mu 590 kwabo 2160 ababeera mu byalo ebyetoolodde olusozi Masaaba, bebakafuna ensimbi zino obukadde 7m.
Mu kiseera kino balinze okubakwasa ettaka lya yiika 1 government lyeyabasuubiza okubagattira ku nsimbi enkalu, lisangibwa mu Gombolola ye Bulambutye mu District ye Bulamburi era kwebagenda okusengukira.
Ensimbi zino government yaziyisizza mu Kitongole ky’obwanakyewa ekya GIVE DIRECT.
Waliwo amaka g’abantu 70 abakyakalambidde okusengulwa ku ttala lyabwe mu District ye Buduuda, nga bagamba nti ensimbi zino obukadde 7 ntono nnyo bw’ogerageranya ne ttaka lyabwe kwebasengulwa
Minister omubeezi owébigwa tebiraze Esther Davinia Anyakun ategezezza nti government egenda kuwaako abo bokka abakkiriza ensimbi zino basenguke mu bifo ebyo ebyo’obulabe abanesisiggiriza ebesonyiwe.
Sentebe wa District ye Buduuda Milton Kamooti ategezezza nti beraliikirivu olw’embeera mu bitundu bya district eno eyeyongera okuzibuwala, olw’enkuba etandise okutonnya eyinza okuvaako okubumbulukuka kw’ettaka.
Bisakiddwa: Ssebuliba William