Police e Ntinda eri ku Muyiggo gw’abazigu abalumbye DIPO ya Riham esangibwa e Ntinda mu Kampala balese balumizza abantu babiri.
Luke Oweyisigire amyuka omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano ategezeza nti byebaakazuula biraga nti abazigu bano babadde batambulira ku pikipiiki nga balina emmundu.
Baalumbye akulira DIPO ya Riham e Ntinda ategerekeseeko erya Sserunkuma nebamusaba ssente, bweyabategeezezza nti tazirina nebamukuba essasi nebatwala n’essimuze.
Luke Oweyisigire ategezeza nti abazigu bano baliko n’omuntu omulala gwe balumizza atanaba kutegerekeka mannya bwe babadde badduka
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico