Ssaabasajja Kabaka asaasidde ab’enju ya Eng.Robert Hubert Kibuuka, gwayogeddeko ng’eyakola obutaweera okunyweeza Namulondo n’okuzimba ensi ye.
Mu bubaka bw’Empologoma bwatisse omumyuka owokubiri owa Katikkiro era omuwanika w’Obwakabaka Owek.Robert Waggwa Nsibirwa.
Obwakabaka ne Uganda bufiiriddwa omuntu abadde ow’enkizo mu mirimu egy’ekikugu n’obukulembeze obutaliiko bbala.
Omuteregga agambye nti Eng.Kibuuka yenyigira butereevu mu nteekateeka z’okuzaawo Obwakabaka mu myaka gya 1990, era emirimu gye mu government eya wakati tegyamulobera kubeera muwulize eri Namulondo.
Nnyininsi agambye nti Owek. Kibuuka yali minister w’obuwangwa n’ennono era yakola ky’amaanyi okulambika abantu mu kiseera ekyali eky’okusoomozebwa ng’Obwakabaka bwakaddawo omulimu gweyakola obulungi.
Yakulemberamu era naalungamya enteekateeka y’okutandikawo CBS, omulimu gw’akoze okutuusa wafiiridde era ng’abadde Director waayo.
Owek.Waggwa era asomye n’obubaka bwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga amwebazizza olw’emirimu gyeyakola mu kutandikawo ebitongole ebyenjawulo mu Buganda, omuli CBS,BUCADEF,BICUL n’ebirala.
Mukusooka wabaddewo ekitambiro kya Missa, eky’okwebaza omutonzi olw’obulamu obwebibala bw’awadde Engineer Robert Hubert Kibuuka eyavudde mu bulamubwensi eno.
Okusaba kubadde ku Eklezia eya Our Lady of Sorrows Nabitalo Parish, nga kukulembeddwamu Vicar General w’essaza lye Kampala Msgr Charles Kasibante.
Vicar General we ssaza ekkulu erye Kampala Msgr Charles Kasibante akukulumidde abazadde abatakyazimba mpeke ya buntubulamu mu baana ekiviriddeko abangi okweyisa nga ensolo eri bantu banaabwe.
Msgr Kasibante nga yakiikiridde Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere yeebazizza bazadde ba Eng. Kibuuka okuli Omugenzi Andrew Mbidde ne Elizabeth Nnakkazi abaamukuza obulungi n’abeera ettaala mu byonna byabadde akola nti ekitali ku baana b’ensangi zino.
Okusaba kuno kwetabiddwamu Nnaalinnya Lubuga Agness Nabaloga, ne Nalinnya Sarah Kagere.
Minisita omubeezi owa ICT mu government eyawakati Owek Joyce Juliet Nabossa Ssebugwaawo ategeezezza nti eggwanga lifiiriddwa omuntu abadde yebuzibwako ku nsonga z’ekikugu ez’enjawulo.
Ssentebe wa Board eddukanya Radio CBS FM omukungu Mathias Katamba mu bubaka bwatisse omumyukawe David Balaaka, ayogedde ku kirabo ekyobuwabuzi omukama kyabadde yawa omugenzi, era nti abadde abalungamya ku nsonga nnyingi.
Omutaka w’akasolya ow’ekika ky’Endiga Lwomwa mu bubakabwe bwatisse Eria Lwasi omumyuuka wa Katikkiro mu kika kye Ndiga, asaasiddennyo abazzukulu olwokuvibwaako omuliga munnabwe gwayogeddeko ng’abadde omusajja enkwata ngabo mu mirimu gya Buganda gyonna ne mu kika kye eky’endiga kyennyini.
Luis Kiyinji nga ye w’Omutuba gwa Bakka ku lw’Aboluganda lw’Omugenzi, agambye nti Omugenzi abadde ayagala nnyo Kabakawe, era kyavudde amuuwerezza obutaweera.
Kiyingi ategeezezza nti Omugenzi Kibuuka yasigibwa eri Kabaka Kitaabwe Andrew Mbidde, Kabaka Muteesa II bweyali alambula eggombolola ye Busukuma.
Abaana b’omugenzi nga bakulembeddwamu Cyrus Kibuuka ne Stella Kibuuka Nakatudde bebazizza Kitaabwe olw’okubabeerera eky’okulabirako ekirungi, okubalambika ate n’okubafunira emikwano.
Minister w’Ebyentambula n’emirimu mu government eyawakati Gen Edward Katumba Wamala ng’akiikiriddwa akulira ba Engineer mu ministry y’ebyentambula Eng Samson Bagonza, agambye nti Omugenzi yali musaale mu kutandikibwawo kw’ekitongole ky’enguudo ki UNRA n’ebitongole ebirala bingi.
Eyaliko ssenkulu w’Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu ggwanga Eng Kimeze Ssebbugga agambye nti waakuleeta ekiteeso eky’Okwefumiitiriza ku buweereza bwa Owek Kibuuka buli mwaaka, nga bweguli ku Bantu abaliko byebaakolera Uganda.
Owek. Eng Robert Hubert Kibuuka yazaalibwa mu 1951, era afiiridde ku gy’obukulu 72.
Agalamiziddwa ku biggya bya ba Jajjaabe e Nabitalo Kiwenda mu ggombolola ye Busukuma mu ssaza Kyadondo.
Bisakiddwa: Kibuuka Fred