Emmundu 9 zezizuuliddwa mu bitundu bye Kalamoja mu bbanga lya wiiki emu, mu bikwekweto ebikoleddwa ebitongole ebikuuma ddembe. Ebikwekweto bino byatandika okuva nga 30.December,2023 okutuuka nga 5.January.2024. Abantu 42 bebakwaatiddwa...
Ku kyalo Sakabusolo e Mafubira mu Jinja City e Busoga abatuuze baguddemu enkyukwe, abaana babiri bagyiridde mu nnyumba nebafuuka bisiriiza. Abaana bano babadde basulamu 3 mu nnyumba, mukulu wabwe ow'emyaka...
Omulamuzi w'eddaala ery'okubiri e Nkokonjeru mu district ye Buikwe Lydia Wabuze asindise abantu 4 alimanda, bavunaanibwa kubba waya z'amasannyalaze. Baakwatiddwa ku byalo ebyenjawulo mu muluka gw'eLubongo e mu gombolola ye...
Minister w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen.Kahinda Otafiire era nga yatwala n'ebitongole ebikuuma ddembe, agambye nti police ekyalina ebintu bingi byekyalina okunoonyerezaako, ku ttemu eryakoleddwa ku pastor Aloysius Bugingo, omwafiiridde omukuumi...
Abantu 6 bali ku bitanda mu ddwaliro bapooca, oluvannyuma lw'okulumbibwa enjuki nezibalumaaluma ku kyalo Bupala mu gombolola ye Buyanga mu district ye Bugweri. Zirumbye maka ga Osinde Vicent nezirumaaluma abaana...
Abatuuze ku kyalo Butegana ku luguudo oluva e Buwenge okudda e Matuumu mu district ye Jinja baguddemu ekyekango, Loole No. UAT 313X ebadde edduka obuweewo bwebuseeko omupiira neguyiringita negukuba omwana...
Entiisa ebuutikidde abatuuze be Kijajasi Makondo mu gombolola ye Ndagwe mu district ye Lwengo, omusajja Sharif Ssesanga myaka 34 bwavudde mu mbeera n'akuba omuvubuka Mukasa Joseph 21, ng'amulanga okumubuuza natamuddamu....
Pastor Alosyious Bugingo owa House of Prayer Ministries asimattuse okuttibwa abazigu abasindiridde emmotoka ye amasasi, omukuumiwe Richard Muhumuza gamukutte afiiriddewo. Pastor Bugingo akubiddwa amasasi mu kitundu kye Namungoona mu gombolola...