Minister w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen.Kahinda Otafiire era nga yatwala n’ebitongole ebikuuma ddembe, agambye nti police ekyalina ebintu bingi byekyalina okunoonyerezaako, ku ttemu eryakoleddwa ku pastor Aloysius Bugingo, omwafiiridde omukuumi we era abadde omukadde w’ekanisa Richard Muhumuza.
Amasasi baagamukubidde mu kitundu kye Namungoona mu gombolola ye Lubaga.
Minister agambye nti okusinziira ku bibadde byakafulumizibwa police, bikyalimu emiwaatwa mingi era nga kizibu mu kiseera kino okukasa nti byebituufu ebyabaddewo ku ttemu lino.
Bino abyogeredde ku CBS 88.8, bw’abadde addamu ebibuuzo ebimubuuziddwa Alex Nsubuga, mu kanyomero k’amawulire aka Nze nga Bwendaba
Bwe biti bwe bibadde;
Ekibuuzo: Alipoota ku ttemu eryakoleddwa ku pastor Bugingo egamba etya era etuuse wa?
Minister: (asoose kuseka) Olowooza alipoota ya police ekwata ku ttemu bagikolera mu ssaawa bbiri?
Bw’oba oyagala alipoota erimu amagezi eyo ebeera esobola okutwala wiiki nnamba n’omusobyo, ng’ennyonyola buli kimu.
Police eteekwa okwekeneenya kinoomu, ani yabaddewo, mundu kika ki, biki ebyabaddewo n’ebirala.
Ekibuuzo: Ate alipoota police gyeyafulumizza
Minister: Eyo alipoota ya police. Etuuka ewa minister yeebeera fayinolo, nga buli kimu mwekiri, kyova olaba nze oluusi nzibagobya, okutuusa nga baleese buli kimu.
Nze saagala kubuulira bannauganda lugambo njagala facts. Sagala alipoota eyokuteebereza, twagala professional work.
Ekibuuzo: Naye ebyakavaayo bikuwa kifaananyi ki: (omuntu n’akubwa amasasi mu mmotoka, mu kitundu omuli abantu abangi ng’ate obudde tebugenze nnyo, nemufiiramu omukuumi, n’oyita ku malwaliro agaliwo okumpi n’omutwala e Mulago, nga naawe ofunyeeko ebisago bitono, nebakutwala mu ICU ate nebakusiibula mu bwangu)
Minister: Owange hmmmm Nze kyeneebuuza, omutemu yamanya atya nti pastor oba agenda kuyimirira awo mu koona?
Bangambye nti omutemu yaavudde mu maaso ga mmotoka, olwo yetegese atya amangu nti kati emmotoka enetera okutuuka kakube amasasi awatali kutya kumutomera?
Omutemu yamanya atya nti emmotoka yeeno etuuse kantandike okukuba amasasi nga gava mu maaso waayo gatuuke okutta omuntu?
Omutemu yamanya atya nti olutuuka awo emmotoka egenda kuyimirira?
Nze ebyo bye bimu byenjala police etegeere bulungi
Sagala nze bintu byakuteebereza.
Ekibuuzo: General munno Muhoozi yavuddeyo , nagamba nti ettemu lino lirimu okuteebereza nti lyandibaamu aba ADF
Minister: Muhoozi akola ku internal affairs?
Byayogera ne byakola ebyo bibye.
Bino byenjogera byange nga munister.
Ekibuuzo: Muhoozi Presidential adviser
Minister: Ebyo bibye
Ffe tulinda professional results ezisobola n’okutwalibwa mu kooti
Kati oyo naye ateebereza buteebereza nga mmwe abantu abalala bwemuteebereza
Twagala professional way of handling issues
Tosobola kugenda mu kooti n’otandika okwogera eby’okuteebereza nti abo ba ADF
Ekibuuzo: Oli general munno?
Minister: Bino sibya general
General akola mu police? Oba kale Bishop w’e Jinja yakulemberera e Lubaga? Ekirala ; Omusawo w’omutwe yalongoosa ebigere?
Oyo yayogedde ye byalowooza naye sso ssi ebiri ku ground
Ekiva ku ground kiva mu professional work nekituwa eky’okukola.
Ekibuuzo: Waliwo ebiwulirwa nti pastor muwagizi wa Muhoozi project?
Minister: Ffe ebyo tebitukwataako. Bugingo
oba muwagizi wa Muhoozi, oba Museven, oba wa Bobiwine ffe tebitukwatako. Ffe tumulabanga munnauganda omulala yenna.
Abawagira Muhammad n’abawagira lubaale bonna tulina okubawa obukuumi nga bannauganda era tugoberera omusango nga munnauganda.
Ekibuuzo: Abantu babadde bewuunya nti Gen.Kainerugaba yabadde yavuddeyo n’asaasira era n’alaga nti bandiba aba ADF?
Minister: Omanyi kyebayita okuba offside, Yabadde offside, yandirinze netufuna obukakafu.
Ekibuuzo: Pastor Ssempa yagambye nti bannaddiini musaanye mubafunire abakuumi
Minister: Tubaggye wa? Buli munnaddiini bwetunaamuwa abakuumi olwo sente z’okubasasula zive wa?
Ekibuuzo: Abantu abalala nga tulaba balina abakuumi, okugeza ng’abayimbi
Minister: Anti abayimbi abo balwanagana, battingana.
Ekibuuzo: General emmotoka yo nga terabikako eyabaddemu pastor eyakubiddwa amasasi?
Minister:Genda obuuze police. Olowooza minister akola kwebyo byonna?
Bwoleeta ennyama ewaka omukyala n’afumba,omubuuza nti amagumba wagatadde wa?
Ndeka nkole ebyange naawe kola ebibyo..#