Entiisa ebuutikidde abatuuze be Kijajasi Makondo mu gombolola ye Ndagwe mu district ye Lwengo, omusajja Sharif Ssesanga myaka 34 bwavudde mu mbeera n’akuba omuvubuka Mukasa Joseph 21, ng’amulanga okumubuuza natamuddamu.
Kigambibwa nti Ssesanga asanze Mukasa mu kkubo ng’atambula, n’amubuzaako Mukasa n’ataddamu, kwekumubuukira n’amukuba wansi n’atandika okumukuba ebikonde n’ensamba ggere.
Abadduukirize bamumutakkuluzzaako ng’aweddemu amaanyi, bagezezaako okumuddusa mu ddwaliro e Kaliisizo naafa nga yakatuusibwayo.
Police ye Nnaanywa Ndagwe e Kijajasi n’ekuba amasasi mu bbanga, okugumbulula abatuuze ababadde besomye okugajambula Ssesanga Sharif asse munabwe.
Kasumba Hussein ssentebe w’ekitundu agambye nti Ssesanga abadde akozesa ebiragalalagala n’omwenge nti byandiba nga byebimuviiriddeko okufuna akasunguyira n’akuba munne n’amutta.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi