Kyaddaaki police efulumizza emmotoka y’Omusumba Aloysius Bugingo ekika kya Lexus eriko enamba PRAIZ GOD, egambibwa nti yakubwa amasasi nga 2.January,2024, omusumba bweyali adda mu makaage nga bino byali Bbawalakata Namungoona mu gombolola ye Lubaga.
Mmotoka y’Omusumba Bugingo eragiddwa bannamawulire ku kitebe kya police ekikulu e Naggulu, kyokka nga abasinga obungi ku bannamawulire abasaka ag’ebyokwerinda tebayitiddwa nga bwegubeera bulijjo.
Mmotoka y’Omusumba Bugingo erabiddwako nga eriko ebituli ebiteeberezebwa okubeera eby’amasasi 11.
Kigambibwa nti mu bulumbaganyi buno omukuumi w’Omusumba Bugingo nga ye Richard Muhumuza era nga muserikale mu gye erikuuma omukulembeze w’eggwanga erya SFC yattiddwa.
Omusumba Bugingo eyasimattuse era nga yeyabadde avuga mmotoka eno agamba nti yagezezaako okuddusa Muhumuza mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga yakakubwa ebyasi naafa nga yakamutuusa.
Police egamba nti omubiri gwa Muhumuza gwasangiddwamu amasasi 7.
Muhumuza aziikiddwa mu district ye Ssembabule, ne pastor Bugingo eyafunye ebisago ebitonotono wamu ne mukyala we Susan Makula betabye mu kuziika.#