Omulamuzi w’eddaala ery’okubiri e Nkokonjeru mu district ye Buikwe Lydia Wabuze asindise abantu 4 alimanda, bavunaanibwa kubba waya z’amasannyalaze.
Baakwatiddwa ku byalo ebyenjawulo mu muluka gw’eLubongo e mu gombolola ye Ngogwe.
Baayoleeddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa abatuuze mu kitundu eky’eLubongo oluvanyuma lw’okumala ekiseera nga bali mu nzikiza, olw’abazigu abasusse okubabba waya z’amasannyalaze.
Kuliko Mugadya Kennedy,Musa Ssemanda, Ssimbwa John ne Sserubanja Aron amanyiddwa nga Red wine Biker.
Olusimbidwa mu kkooti basomeddwa omusango gw’obubbi gwebegaanye, naye omulamuzi n’agaana okusaba kwabwe okwokweyimirirwa.
Abasindise ku alimanda okutuusa nga 16 January,2024.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis