Ku kyalo Sakabusolo e Mafubira mu Jinja City e Busoga abatuuze baguddemu enkyukwe, abaana babiri bagyiridde mu nnyumba nebafuuka bisiriiza.
Abaana bano babadde basulamu 3 mu nnyumba, mukulu wabwe ow’emyaka 12 abadde alese abasibiddemu n’ageenda okuwerekera mukwano gwe ku dduuka.
Abafudde kuliko ow’emyaka 2 n’emyaka 4 egy’obukulu.
Mukulu wabwe agamba nti omusubbaawa ogubadde gubawa ekitangaala mu kisenge mwebasula, gwandiba nga gukulukuse omuliro negukwata ebintu ebirala.
Abatuuze bategeezezza nti bazadde b’abaana bano nabo tebabaddewo, kitabwe yagenda Kenya gyakolera so nga ne nnyabwe musuubuzi ng’oluusi tabeerawo.
Bisakiddwa: Kirabira Fred