Abantu 6 bali ku bitanda mu ddwaliro bapooca, oluvannyuma lw’okulumbibwa enjuki nezibalumaaluma ku kyalo Bupala mu gombolola ye Buyanga mu district ye Bugweri.
Zirumbye maka ga Osinde Vicent nezirumaaluma abaana n’omukyala, wamu n’embuzi zabwe bbiri zizirumiddwa enjuki nezifa.
Sentebe we kyalo Bupala Kakaire Mahad agambye enjuki zibagwikirizza mu luggya nga balya mmere nezibayiikira nezibaluma wamu n’ensolo zqbwe, oluvannyuma nezibuuka nezeeyongerayo.
Abadduukirize bagenze okubatuukako ng’embeera mbi nnyo naddala abaana abato nga tebakyategeerekeka.#
Bisakiddwa: Kirabira Fred