Police mu district ye Luweero esanze akaseera akazibu okukakkanya abatuuze ababadde batasalikako musale ku kyalo Wattuba ekisàngibwa mu gombolola ye Kamira, ababadde beekalakaasa kubigambibwa nti ebyokoola bibamazeeko emirembe. Abatuuze balumiriza...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozza ebijaguzo eby'emyaka 25, okuva ettendekero ly'Obwakabaka erya Buganda Royal Institute of Business and technical Education Mengo lweryataandikibwawo. Ebikujjuko bitongolezeddwa ku matikkira g'abayizi b'ettendekero...
Molly Katanga nnamwandu w’omusuubuzi Henry Katanga asimbiddwa mu kkooti ento e Nakawa navunaanibwa omusango gw'okutemula bba era naasindikibwa mu kkooti enkulu yeeba emuwozesa. Omuwawaabirwa okuva bba lweyatemulwa nga 02 November,2023,...
Olukiiko olukulira ebyokwerinda mu District ye Lwengo lusazeewo okugoba n’okuwera ebyuma byonna ebya Zaala ebimanyiddwa nga eby'Abayindi mu ggomboloa ya Lwengo Rural, olw’obubbi obwabbuli ngeri okweyongera ate nga bwenyigwiramu n’abaana. Mu...
Nabbambula w'omuliro asaanyizaawo business z'abantu ku kyalo Nakuwadde Bulenga mu Mumyuka Wakiso ebyuma bya kasooli byonna biyidde. Omuliro guno gukutte ku saawa nga kkumi ez'ekiro nga kiteeberezebwa nti gwandiba nga...
Abagalana Acen Jesca owemyaka 29 ne muganziwe Ogwal Kenneth basangiddwa mu nnyumba gyebabadde basulamu nga bafudde. Ettemu lino libadde ku kyalo Kireku Railway Zone mu Kira municipality mu district ye...
Police egambye nti bbomu eteguluddwa ku Rolex beach okumpi ne Botanical gardens emaze emyaka egiwera nga yali yaziikibwa mu ttaka. Amyuk omwogezi wa police mu Kampala n'emiriraano Luke Oweyesigire agambye...
Waliwo omuvubuka asimattuse okutirimbulwa abatuuze e Nansana mu Wakiso, entabwe evudde ku muvubuka ono okukwata ku kabina k’omukyala, wabula omukyala bwamutegeezezza nti ye mukyala mufumbo era atalina kwemoonkolerwako, omuvubuka kwekuva...
Abasirikale ba police ya Uganda 4 bagobeddwa ku mulimu, bagende bakole ebirala,oluvannyuma lw'okwekobaana nebanyaga ensimbi ku bagwira. Abagobeddwa kuliko Among Fiona owe Kabalagala, Angula Isaak, Ngalenda Bernard ne Baluku Shafic...