Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB, kifulumizza ebyava mu bigezo by’abayizi abaatula omwaka oguwedde ogwa 2023 ebya Primary Leaving Examinations (PLE), abayizi abasiinga obungi bayitidde mu ddaala lyakubiri na lyakusatu.
Abayizi emitwalo 74 9,254 abaatula ebigezo omwaka oguwedde, emitwalo 86,582 bokka bebayitidde mu ddaala erisooka, abayizi emitwalo 336,507 bayitidde mu daala lyakubiri, ate abayizi emitwalo 15 6,290 bayitidde mu daala ly’akusatu.
Abayizi emitwalo 69,283 bayitidde mu daala lyakuna, ssonga abayizi emitwalo 88,269 ebigezo baabigudde era bbo bakuddamu okusoma ekibiina ekyomusanvu omwaka guno 2024.
Abayizi 12,323 tebaatuula bigezo newankubadde baali beewandiisa okubikola, nga bano baweza omuwendo gwabitundu 1.6%, ku bayizi abeewandiisa okubituula. Omuwendo guno gusalise nnyo okuva ku bayizi emitwalo 20, 844 abataatuula mu mwaka 2022.
Abayizi abawala baasinze abalenzi mu kukola essomo ly’olungereza, ate abayizi abalenzi bakize abawala mu masomo amalala okuli okubala, SST ne Science.
Essomo lya science lyeryasinze okukolebwa obulungi neriddirirwa essomo lya SST n,oluzungu, ssonga okubala kwekwasinze okukolebwa obubi mu bigezo byomwaka 2023.
District okuli Kibuku, Madi Okollo, Namisindwa, Kween, Dokolo, zeezimu ku zaasinze okubaamu abayizi abakoze obubi ebigezo.
Dan Odongo, akulira ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ekya UNEB, agambye nti abaana abasinga baakosebwa nnyo omuggalo gw’ekirwadde Kya Covid 19, kyokka asanyukidde nnyo ekyomuwendo gwabaana abeewandiisa okukola ebigezo nebatabituula okuba nga gwakendeddeko.
Dan Odongo era bwabadde asoma ebyavuddemu bigezo bino ku mukolo ogubaeldde mu maka gobwa president e Nakasero, agambye nti wakyetaagisawo amaanyi ku baana abawala abakyakola obubi mu masomo amalala, ssonga oluzungu balukola bulungi mu myaka ejizze jiyitawo.
Dr Joyce Moriku Kaducu, minister omubeezi ow’eby’enjgiriza avunanyizibwa ku matendekero agasookerwako, agambye nti abazadde basaanidde okwongera okukolagana n’okuwuliriza abaana baabwe newankubadde abamu bagudde ebigezo, okwewala okubawuliza ngaabatalina mugaso mu nsi.
Minister akoowoose abaagudde ebigezo okwanguwa okubawandiisizaawo mu masomero mu lusoma olutandika nga 05 February,2024.
Bisakiddwa: Ddungu Davis