Abasirikale ba police ya Uganda 4 bagobeddwa ku mulimu, bagende bakole ebirala,oluvannyuma lw’okwekobaana nebanyaga ensimbi ku bagwira.
Abagobeddwa kuliko Among Fiona owe Kabalagala, Angula Isaak, Ngalenda Bernard ne Baluku Shafic nti baanyaga Munnansi wa Kenya Muhammed Olard ne banne abataatuddwa mannya, nebabanyagako emitwalo gya doola za America esatu.
Muhammed Olard ne banne baali bazze kusula ku Hotel ya Royal View e Buziga, kyokka akulira ekifo kino olwabalaba ne doola naabawendulira abasirikale abaababuzaabuza.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga, ategeezezza bannamawulire ku kitebe kya police ekikulu e Naggulu nti abaserikale bano wadde bagobeddwa mu police, era bakuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka wamu n’abaweereza ku Royal View Hotel olw’okwekobaana nebanyaga.#