Police egambye nti bbomu eteguluddwa ku Rolex beach okumpi ne Botanical gardens emaze emyaka egiwera nga yali yaziikibwa mu ttaka.
Amyuk omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire agambye nti bbomu eno yandiba nga yeemu ku byali byasigalira mu ntalo ezaali mu Uganda era neziikibwa, wabula emyaka bwegigenze gitambula n’enkuba etonnya nebiseeteeza ettaka bbomu nedda ku ngulu.
Abakozi ku biici eno bwebaalabye ekintu ekyefaananyiriza okuba bbomu kwekutegeeza police eyaleese embwa ekonga olusu, nekikakasibwa nti yabadde bbomu.
Kaabadde kaseera kabunkenke eri abantu abaabadde bagenze okuwummulamu ku biici era abamu baategezezza nti bulijjo babadde balaba ekintu ekyo naye nga tebamanyi nti bbomu.
Police y’Entebbe eteguludde bbomu eno era tewali muntu atuusiddwako bulabe.#