Molly Katanga nnamwandu w’omusuubuzi Henry Katanga asimbiddwa mu kkooti ento e Nakawa navunaanibwa omusango gw’okutemula bba era naasindikibwa mu kkooti enkulu yeeba emuwozesa.
Omuwawaabirwa okuva bba lweyatemulwa nga 02 November,2023, alabiseeko mu Kkooti oluvannyuma lw’emyezi 2 n’ekitundu, oluvannyuma lwa kooti okufulumya ekiragiro ky’okumukwata.
Namwandu olutuusiddwa mu kooti, omulamuzi Erias Kakooza tamukkiriza kwewozaako n’amusindika mu kooti enkulu nti kubanga yerina obuyinza obuwozesa emisango gya Naggomola.
Molly Katanga avunaanibwa ne bawalabe Martha Nkwanzi, Patricia Kakwanzi, omusawo Charles Otai n’omukozi wa waka George Emanyire bano nabo baasindikiddwa mu kooti enkulu bawerennembe n’emisango gy’okutta omuntu.
Obumu ku bujulizi bw’oludda oluwaabi bulaga nti abafumbo Molly Katanga ne Henry Katanga balinamu obutakaanya, era nti kino kyali kiviiriddeko ne Henry nga tanattibwa okusaba munnamateeka we amuwandiikire ekiraamo kye ng’agamba nti obulamu bwe bwali mu matigga.
Obujulizi obulala bulaga nti omugenzi yali yafuna ennamba y’essimu ey’ekyama gyeyali akozesa okukubira ab’oluganda lwe n’abantu abalala, olw’embeera eyaliwo mu maka gabwe n’ebintu ebirala.
Kigambibwa nti n’emmundu kika kya pistol eyakozesebwa okutta Katanga, yakeberebwa n’esaangibwako endagabutonde za Molly Katanga.
Henry Katanga yasangibwa mu kisenge kye ng’akubiddwa amasasi nga 02 November,2023, ne mukyala we Molly Katanga n’asangibwa ng’aliko obuvune naddusibwa mu ddwaliro gy’abadde okuva kw’olwo, okutuuka lw’aleeteddwa mu kooti.
Bisakiddwa: Betty Zziwa