Nabbambula w’omuliro asaanyizaawo business z’abantu ku kyalo Nakuwadde Bulenga mu Mumyuka Wakiso ebyuma bya kasooli byonna biyidde.
Omuliro guno gukutte ku saawa nga kkumi ez’ekiro nga kiteeberezebwa nti gwandiba nga guvudde ku masannyalaze.
Abamu ku batuuze bagamba nti amasannyalaze gasoose kuvaako mu nkuba ebadde efudemba, wabula wayiseewo ekiseera kitono nga gaakadda omuliro negutandika okwaka.
Police y’abazinnya mwoto etuuse okutaakiriza embeera wabula esanze bingi bitokomose,era kigitwalidde esaawa ezikunukkiriza mu mukaaga okuguzikiza gwonna.
Ssentebe wabannyini byuma ebikuba obuwunga e Bbira Bamwanguya Paul agambye nti abantu abajiiridwa emmaali babadde baava mu Kisenyi mu Kampala era ng’omuliro gwegwabagobayo nebadda e Nakuwadde nti nayo kati gubasanzeeyo, n’agamba nti betaaga obuyambi obwenjawulo mu mbeera eno.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif