Waliwo omuvubuka asimattuse okutirimbulwa abatuuze e Nansana mu Wakiso, entabwe evudde ku muvubuka ono okukwata ku kabina k’omukyala, wabula omukyala bwamutegeezezza nti ye mukyala mufumbo era atalina kwemoonkolerwako, omuvubuka kwekuva mu mbeera nasala omukyala akambe ku mukono kumpi kwagala kumukutula kiseke
Mugisha Godfrey akola okwokuwaata water-meroon e Katooke ku kidda e Wamala yasimattuse okugajambulwa abatuuze, bwakutte ku kabina k’omukyala nga tamuwadde lukusa ate omukyala bwamunenyezaako n’amusala akambe kakozesa okusala watermelon.
Abatuuze nabo bafuundiikirizza Mugisha nebakuba ensamba ggere, police okuva e Katooke y’emutaasizza.
Nagawa Bushira asaliddwa adusiddwa mu ddwaliro jjetumusanze nga afuna obujanjabi era ono ayogedde ku mbeera ebaddewo.
Naluyinda Hajara muganda wa Bashira abaddewo nga basala muganda we agamba mulamu wabwe abadde abatumye ku kirabo ky’emmere okusasulayo ensimbi, wabula bwebabadde bakomawo kwekugwa ku kibabu.
Kyagulannyi Yosam bba wa Bushira yewunyiza ensonga ewalirizza omuvubuka ono okusala mukyalawe, nasaba abakwasisa amateeka okubakwasizaako basobole okufuna obwenkanya
Omusawo ku ddwaliro lya doctors Tad clinic atayagadde kumwatukiriza mannya gwetusanze nga akola ku mukyala, ategezezza nti ebiwundu ebimutuusiddwako bibadde ebyamanyi wabula nga akyakola kyasobola okukakanya omusaayi oluvanyuma alabe oba abongerayo mu ddwaliro eddene.#