Abagalana Acen Jesca owemyaka 29 ne muganziwe Ogwal Kenneth basangiddwa mu nnyumba gyebabadde basulamu nga bafudde.
Ettemu lino libadde ku kyalo Kireku Railway Zone mu Kira municipality mu district ye Wakiso.
Abatuuze abakulembeddwamu Wasswa Latif ow’ebyokwerinda batemezza ku police oluvannyuma lw’okulaba omusaayi ogubadde gukulukuta okuva mu nnyumba ebadde ensibe.
Ab’obuyinza bamenye ennyumba omubadde abaagalana bano basanze bombi bafu.
Omukyala Achen Jesca asangiddwako ebiwundu bingi ku bulago n’ebitundu by’omubiri ebirala, so nga omusajja asangiddwako ekiwundu kimu ku bulago, ng’emirambo wegisaangiddwa walaga nti wabaddewo Obubonero obw’ensitaano.
Ssendawula John Lennon Omu ku batuuze mu kifo kino, ategeezezza nti abaagalana bano babadde batera okulwanagana nga balangiragana obwenzi, era kiteeberezebwa okuba nga kyekivuddeko okulwanagana kuno n’Okuttingana.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwaano Luke Oweyisigire, ategeezezza nti emirambo gy’abaagalana gitwaaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro lya KCCA okweekebejjebwa, kyokka naasaba abaagalana obutatwalira mateeka mu ngalo, wabula beyunire abakugu babatabaganye.
Bisakiddwa: Kato Denis