Omusirikale wa police Saddick Hussein abadde asula mu nkambi ye Namanve mu district ye Mukono asangiddwa afiiridde mu nnyumba mw'abadde asula. Kigambibwa nti omusirikale ono abadde amaze akaseera nga talabikako,...
Owek.Cotilda Nakate Kikomeko minister w'ekikula ky'abantu, eby'obulamu, ebyenjigiriza ne wofiisi ya Nnaabagereka asomye amawulire ku ssaawa kkumi ezolweggulo ku 88.8 Okukuza olunaku lw’abakyala mu nsi yonna,...
Akulira essomero lya Makerere College School Martin Muyingo agamba nti abaana abawala betaaga okuweebwa obudde okulambikibwa n'okwezuula mu byebakola, lwebasobola okuggyayo obulungi obusobozi bwabwe. Awadde eky'okulabirako eky'amasomo ga sciences agaatwalibwanga...
President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni azeemu okuwera nti agenda kufaafagana n’abakulira amasomero ga government abasaba abayizi ebisale by'essomero. Museveni asinzidde ku mikolo gy’abakyala egibadde mu district ye Katakwi....
Olukiiko lw'Abalabirizi mu kkanisa ya Uganda lulonze Rev Canon Wilson Kisekka, okubeera Omulabirizi w'obulabirizi bwe Luweero omuggya. Rev.Wilson Kisekka alangiriddwa wamu ne Rev.Alfred Muhoozi ow'obulabirizi bwa North Ankole, mu lutuula...
Ekibinja ky'abakugu okuva mu kitongole ekivunanyizibwa ku bibuuzo ekya UNEB basisinkanye abakulu mu ministry y'eby'enjigiriza nebabanyonyola ku bimu ku byavudde mu bigezo by'omwaka oguwedde 2023. Abayizi emitwalo 110, 569 bebewandiisa...
Ssaabawaabi wa government ategeezezza omulamuzi omukulu owa kkooti yé Nakawa nti obujulizi bw'omusawo w'ekinnansi, obulumiriza abasibe abagambibwa okutemula Omugenzi Joan Kagezi eyali omuwaabi wa government bwakubayamba okuggusa omusango guno....
Police mu district ye Mityana ekutte omusajja Kasozi Sulaiman ow'emyaka 40, nga ono yakkidde abaana beyezaalira basatu n'abafumita ebiso eyo mu matumbi budde okukkakkana nga omu avudde mu bulamu bwe...