Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB, kifulumizza ebyava mu bigezo bya S.6 by’omwaka 2023, ebitundu 99% baabiyise basobola okweyongerayo mu matendekero agawaggulu.
Abayizi 110,553 bebeewandiisa okutuula ebibuuzo bino, wabula abayizi 109,488 bebaatuula ate abalala 1,065 tebaabikola wadde beewandiisa.
Ssenkulu wa UNEB Dan Odongo agambye nti ku bayizi emitwalo 109,488 abaatula S.6 omwaka oguwedde, abayizi emitwalo 108,492 by’ebitundu 99% baayise ebibuuzo era bakweyongerayo mu matendekero ag’omutendera oguddako.
Dan Odongo agambye nti abayizi 996 bokka bebaagudde ebibuuzo, era bbo basobola okuddamu okusoma S.6 omwaka guno 2024, sso nga naabakwatiddwa ebibuuzo mu kukoppa batono ddala.
Abayizi 52,452 kwabo abatudde bafunye principal pass 3, abayizi 28,191 bayise ne principal pass 2, abayizi 18,624 baayise ne principal pass 1 sso nga abayzi 9,225 bbo bayise ne Subsidiary Pass.

Abayizi emitwalo 8, 643 by’ebitundu 74% basobola bulungi okweyongerayo mu Universities ezenjawulo olw’okuba baawezezza obubonero bwa Principal pass 2 zokka ezeetagisa. Omuwendo guno gweyongeddeko bw’ogerageranya emitwalo 6 7,815 by’ebitundu 70% abaazufuna mu mwaka 2022.
Abayizi ebitundu 89% basobola okwegatta ku matendekero agawaggulu, olwokuba nti baafunye obubonero obukola Principal Pass emu ne Subsidiary Pass emu ebyetaagibwa mu mateeka.
Dan Odongo, agamba nti abayizi abawala baakoze bulungiko ebibuuzo byomwaka guno 2023 okukira ku bayizi abalenzi naddala mu masomo, okuli ery’eby’enfuna (Entrepreneurship), CRE, Geography, English Literature, Agriculture, Chemistry, Biology n’okusiiga ebifananyi (Fine Art).
Amasomo okuli okubala abayizi bongedde okugajjumbira ku mutendera guno.

Mu ngeri yeemu, Prof Celestino Obua, ssentebe w’ekitongole kya UNEB, era omumyuka wa ssenkulu wa Mbarara University, agambye nti government yakulangirira ennambika entufu enagobererwa mu kutuuza abayizi abaagwa ebigezo ku mutendera gwa S.4, era naasaba abazadde okuteekateeka obulungi abayizi bano okutuula ebigezo mu October,2024.
Minister omubeezi ow’ebyenjigiriza avunaanyizibwa ku matendekero agawaggulu, Dr JC Muyingo, asinzidde mu kufulumya ebibuuzo bino neyenyamira olw’abasomesa ba Science okufuna ensimbi ennyingi naye nga alizaatisi ku byebakola tezirabika bulungi mu bifulumizibwa UNEB.
Bisakiddwa: Ddungu Davis