Omusirikale wa police Saddick Hussein abadde asula mu nkambi ye Namanve mu district ye Mukono asangiddwa afiiridde mu nnyumba mw’abadde asula.
Kigambibwa nti omusirikale ono abadde amaze akaseera nga talabikako, bagenze okutuuka ku nju mwabadde asula ng’evaamu ekivundu, police kwekugimenya esanze yeezingiridde essuuka mu bulago nga yava dda mu bulamu bw’ensi.
Saddick Hussein abadde asula Namanve ng’akolera ku police ye Kisoga mu district ye Mukono.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire e Nagguru, n’ategeeza nti bakyanoonyereza ku nfa y’omusirikale wabwe ono, wadde nga waliwo nebyebaakafuna ebigambibwa nti omusirikale ono aliko omusibe gweyakwata n’amuggyako ebintu byonna byeyalina.
Ebintu ebyo kigambibwa nti mwalimu ne ssente za Uganda emitwalo 800,000, nti naazikozeseza okukuba Zzaala (betting) akapapula nekamukubirayo.#