Okukuza olunaku lw’abakyala mu nsi yonna, nga 08 March,2024, ku CBS abakyala okuva buweereza obwenjawulo bebakoze emirimu gyonna egikolebwa ku mpewo mikutu gyomb eyo’Obujajja 88.8 n’Emmanduso 89.2
Abakyala abaasomye amawulire bagamba nti baafunye ekinyegenyege okuddayo okusoma eby’amawulire ate abamu nga batenda abagasoma buli lunaku okubeera ku bunkenke obutagambika.
Abantu abanjawulo abaweereddwa omukisa okusoma amawulire batenderezza Radio ya Kabaka Cbs olw’omukisa gweyabawadde okuwerezaako ku Radio ya Kabaka.
Omubaka omukyala owa district ye Kayunga Aidah Nantaba n’omubaka omukyala owa Masaka Juliet Kakande bano bagamba nti bulijjo bawuliriza abawulire ga cbs naye nga tebamanyi keetalo kabeerawo mu kugateekateeka.
Sister Teddy Nakyanzi okuva mu maka gabakateyamba e Nsambya ne RDC wa Buikwe Hajati Hawa Ndege bano nga basomye amawulire ga saawa omukaaga ez’emisana agava mu Buganda.
Bagamba nti bakaankanidde ku muzindaalo naye nga buli lwebalowooza nti waliwo ababawuliriza nebaguma.
Abalala okuli olubaka wa Mpigi Teddy Namboozi,Meeya wa Nansana Regina Bakitte,kansala Nakabugo bagamba nti okusoma amawulire ku lunaku luno kyabawadde omukisa okuwuliziganya n’abantu babwe ku ngeri eyenjawulo etali yabyabufuzi.
Okutwalira awamu abakyala bakinooganyizza nti buli muntu alina okuwa ekitiibwa omulimu gwa munne kubanga sibyangu buli wamu.#