Ssaabawaabi wa government ategeezezza omulamuzi omukulu owa kkooti yé Nakawa nti obujulizi bw’omusawo w’ekinnansi, obulumiriza abasibe abagambibwa okutemula Omugenzi Joan Kagezi eyali omuwaabi wa government bwakubayamba okuggusa omusango guno.
Ssaabawaabi aliko obujulizi bw’alabise naabuwaayo eri omulamuzi Elias Kakooza, asindise abawawaabirwa 4 mu kkooti enkulu ewozesa ba kalintalo batandike okuwerennemba nógwokutta Joan Kagezi.
Abasajja bano 4 ye Kisekka Daniel Kiwanuka owémyaka 43 nga mutuuze we Nsanvu mu district yé Kayunga, Kibuuka John, Nasur Abdallah Mugonole ne Masajjage John abakuumirwa mu kkomera ly’e Kitalya.
Kkooti etegeezeddwa nti bano bwe baamala okutta Kagezi nga 30 Mar 2015, baddukira eri omusawo omuganga mu district yé Kayunga nti asibe omusango ogwo, era waliwo essuubi nti obujulizi bw’omusawo ono bwakuyamba nnyo okuggusa omusango.
Wabula bano sitaani yabavaamu nga 15 April 2015, Kibuuka bwe yakwatibwa okuva mu makaage e Nabweru, banne bonna bwe baali mu lukwe nábawaayo.
Oluvannyuma bonna beewaako obujulizi nti olukwe lwókutta Kagezi baalukkanyaako nga bali mu Democratic Republic of Congo, nti era eyo Kibuuka gye yasinziiira okugula emmundu 2 ezaakozesebwa mu ttemu eryo.
Bagamba nti Kibuuka banne yabasasulako emitwalo gya shs 500,000, olwo nábasuubiza okubongera endala nga bamalirizza omupango.
Oludda oluwaabi lulumiriza nti Joan Namazzi Kagezi baamuttira Kiwaatule mu gombolola ye Nakawa mu Kampala nga 30 March, 2015 essaawa zaali wakati we 1 ne 2 ez’akawungeezi, bwe yali ava ku mirimu nga yeevuga mu mmotoka ye nábaana be 3.
Kigambibwa nti omugenzi yatemulwa Kibuuka John eyali amuwondera ku pikipiki, bwe yatuuka e Kiwaatule okwegulira ku bibala, omutemu kwe kumusindirira amasasi agaamuggya mu budde.
Obujulizi bulaga nti bwebaamala okutta baayolekera Najjeera, eyo gyebaava nebagenda e Bunnamwaya Kajjansi, gyebaatemulira omukyala omulala nebanyaga n’ebintu bye mu kiro ekyo kye kimu.
Ssabawaabi wa government agambye nti waakwesigama nnyo ku bujulizi bwómusawo owékinnansi, obujulizi bwábo abeerabirako, bwiino akwatibwa ku ssimu zómu ngalo ezubeera zikubiddwa, ebbaluwa yómusawo nébirala, okukakasa kkooti nti bano okutta Nnamazzi Kagezi baalina ekigendererwa ekyókuwugula government, oba ngénsonga yabwe yalimu ebyóbufuzi.
Abawawaabirwa bano bawerennemba némisango 2 egya nnaggomola, omuli ogwóbutwemu nógwobutujju.
Bisakiddwa: Betty Zziwa