Ekibinja ky’abakugu okuva mu kitongole ekivunanyizibwa ku bibuuzo ekya UNEB basisinkanye abakulu mu ministry y’eby’enjigiriza nebabanyonyola ku bimu ku byavudde mu bigezo by’omwaka oguwedde 2023.
Abayizi emitwalo 110, 569 bebewandiisa okukola ebigezo omwaka oguwedde, abayizi ebitundu 43% abawera emitwalo 43,227 baali bawala, ate abalenzi baali ebitundu 57% gy’emitwalo 67,342.
Ebibuuzo bino byakolebwa wakati w’ennaku z’omwezi nga October ne November okutuusa nga 1 December 2023.
Prof. Obua Celestino ssentebe wa UNEB ne Dan Nockrach Odongo akulira UNEB, bebakulembeddemu ekibinja ky’abakulu mu UNEB ababadde mu maka gobwa president e Nakasero, okuyitiramu minister webyenjigiriza n’emizannyo n’ekibinja kyabakwatibwako ensonga ng’ebibuuzo tebinaba kufulumizibwa.
Bino by’ebibuuzo eby’omuteeko ogusembayo ebitegekebwa UNEB, ngebyasooka byali bya PLE ebyafulumizibwa ku nkomerero ya January 2024, ebya Senior ey’okuna ebya UCE ebyafulumizibwa nga 15 February,2023 ne bya UACE ebigenda okufuluma nga 07 March,2024.