President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni azeemu okuwera nti agenda kufaafagana n’abakulira amasomero ga government abasaba abayizi ebisale by’essomero.
Museveni asinzidde ku mikolo gy’abakyala egibadde mu district ye Katakwi.
Agambye nti abayizi bangi naddala abawala bongedde okuwanduka mu masomero olw’abakulira amasomero gano okugyako abazadde abanaku ensimbi, nebalemererwa okusomesa abaana be ggwanga.
Asabye abakyala okumuwagira mu ntekateeka eno omwana omuwala okwongera okufuna ebyenjigiriza.
Museveni mungeri yeemu alabudde abantu mu kitundu kye Teso okukomya okukolerera mmere ya leero, wabula batandiike okukola emirimu egivaamu ekyokulya n’okwekulakulanya.
Agambye nti kikwasa ennaku okulaba ng’abantu balina ettaka mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo naye nga baavu, kyokka nga balina ettaka lyebasobola okukozesa nebagaggawala.
Mungeri yemu omukulembeze we ggwanga alabudde abaana abawala abagenda mu mawanga amalala okukuba ekyeyo nti bano tebalina kyebanonayo kigenda kukyusa mbeera zabwe, nti kubanga basobola okugaggawalira wano, agambye nti ebyokutambula mu mawanga amalala tabyagala.
President agambye nti abavubuka bangi basazeewo okwonoona sente nga bagenda okukuba ebyeyo, emya negiyitawo nebakomawo ku butaka nga tebalina wadde omunwe gw’ennusu.
Amyuka omukulembeze w’eGgwanga Jessica Rose Epel Alupo ategezezza omukulembeze w’eggwanga nti entekateeka zireteddwa government ziyambyeeko abakyala okwekulakulanya naddala emyooga n’enkola ya Parish Development Model.
Mungeri yeemu awadde abakyala amagezi okwelwanako okutandikawo emirimu egyibakulakulanya ,bagaziye enfuna y’amaka gabwe.#