Police mu district ye Mityana ekutte omusajja Kasozi Sulaiman ow’emyaka 40, nga ono yakkidde abaana beyezaalira basatu n’abafumita ebiso eyo mu matumbi budde okukkakkana nga omu avudde mu bulamu bwe nsi eno ababiri nebaddusibwa mu ddwaliro e Gombe nga biwala ttaka.
Omwana attiddwa ye Edrisa Bukenya abadde wa myaka 10 egy’obukulu.
Kasozi omutuuze ku kyalo Kikuutanfuufu ekisangibwa mu gombolola ye Kakindu mu District ye mityana.
Kigambibwa nti ekyamuggye mu mbeera atuuke n’okutemula abomunjuye lye bbanja lyeyeewola okuva ewa “money lender” gwetutegeddeko erya Kateregga, nga lyali lya shs akakadde kamu (one million shs) kyokka nga libadde lyakula okutuuka ku bukadde busatu ne mitwalo Ana ( shs3.4m)
Okunoonyereza okwakakolebwa police kulaga nti Kasozi abadde ateekaterka okusenguka ku kyalo olwokulemwa okusasula ensimbi, era ng’endagaano eyakolebwa yaweddeko nga 5 March,2024.
Wabula nti mukyala we Diana Ariba abadde amulemesa, ekyaviiriddeko omusajja obusungu okubumalira ku baana.
Ayogerera Police mu bitundu bya Wamala Rachel Kawala agambye nti Kasosi bamugguddeko emisango ebiri ogw’obutemu n’okugezaako okutemula.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi