Ssabasajja Kabaka asiimye naagabula abakozi be ku Radio ya CBS ekijjulo ekyenjawulo, oluvanyuma lw'okukwata ekifo eky'okubiri mu nkola y'emirimu mu bitongole bye byonna mu nsengeka y'omwaka 2022. Ettendekero lya Buganda...
Abasajja n’abakazi ba Kabaka abeetaba mu Program ya Entanda ya Buganda 2022 ku Radio CBS abaatuuka ku lumeggana oluddirira olw’akamalirizo n’abaatuuka mu Lubiri ku lumeggana olw’akamalirizo, bakwasiddwa ebirabo byabwe byebaawangula....
President wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine akiise embuga, ng'awerekeddwako bannakibiina abalala. Asisinkanye Katikkiro Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mengo, mu nsisinkano etakkiriziddwamu b'amawulire. Kyagulanyi awerekeddwako akulira oludda...
Joshua Musaasizi Nsubuga asoma amawulire ku CBS FM ne BBS telefayina eyaffe agattiddwa mu bufumbo obutukuvu ne mwana munne Eliva Kiwumulo Oligye. Bagattiddwa mu Kanisa ya Seventh day Adventist church...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naagabula abantube ekijjulo ekyenjawulo mu Lubiri e Mengo, ku mukolo Omulangira David Kintu Wassajja n’Omuzaana Marion Nankya kwebajagulizza okuweza emyaka 10 mu bufumbo...
Nnaabagereka Sylvia Naginda asabye Abaganda abali wa bweru wa Buganda okulabira ku bayimbi ba Ganda Boys, okubunyisa ekitiibwa kya Buganda nga bayita mu nkola ey’Obuntubulamu n’okutumbula ennono n’obuwangwa. Nnaabagereka akyazizza...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde ekibiina ekiri mu Buyinza ekya NRM amagezi ,okukolagana n’obwakabaka okukubaganya ebirowoozo ku bukulembeze obuyinza okukyusa ensi eno etuuke ku nkulaakulana y’amawanga amalala. Katikkiro...